< Zabbuli 61 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda; wulira okusaba kwange.
大卫的诗,交与伶长。用丝弦的乐器。 神啊,求你听我的呼求, 侧耳听我的祷告!
2 Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi, omutima gwange nga gugenda gunafuwa. Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
我心里发昏的时候, 我要从地极求告你。 求你领我到那比我更高的磐石!
3 Kubanga gw’oli kiddukiro kyange. Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
因为你作过我的避难所, 作过我的坚固台,脱离仇敌。
4 Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna; ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
我要永远住在你的帐幕里! 我要投靠在你翅膀下的隐密处! (细拉)
5 Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange: ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
神啊,你原是听了我所许的愿; 你将产业赐给敬畏你名的人。
6 Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka; emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
你要加添王的寿数; 他的年岁必存到世世。
7 alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna. Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
他必永远坐在 神面前; 愿你预备慈爱和诚实保佑他!
8 Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna, nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
这样,我要歌颂你的名,直到永远, 好天天还我所许的愿。

< Zabbuli 61 >