< Zabbuli 60 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo. Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi, otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
למנצח על שושן עדות מכתם לדוד ללמד בהצותו את ארם נהרים ואת ארם צובה וישב יואב ויך את אדום בגיא מלח שנים עשר אלף אלהים זנחתנו פרצתנו אנפת תשובב לנו׃
2 Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa; tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
הרעשתה ארץ פצמתה רפה שבריה כי מטה׃
3 Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo; tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
הראיתה עמך קשה השקיתנו יין תרעלה׃
4 Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu, era akatiisa abalabe baabwe.
נתתה ליראיך נס להתנוסס מפני קשט סלה׃
5 Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo, abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
למען יחלצון ידידיך הושיעה ימינך ועננו׃
6 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti, “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu, era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
אלהים דבר בקדשו אעלזה אחלקה שכם ועמק סכות אמדד׃
7 Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange; ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
לי גלעד ולי מנשה ואפרים מעוז ראשי יהודה מחקקי׃
8 Mowaabu kye kinaabirwamu kyange, ate Edomu gye nkasuka engatto yange: ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
מואב סיר רחצי על אדום אשליך נעלי עלי פלשת התרעעי׃
9 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
מי יבלני עיר מצור מי נחני עד אדום׃
10 Si ggwe Ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala na magye gaffe?
הלא אתה אלהים זנחתנו ולא תצא אלהים בצבאותינו׃
11 Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
הבה לנו עזרת מצר ושוא תשועת אדם׃
12 Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi, kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
באלהים נעשה חיל והוא יבוס צרינו׃

< Zabbuli 60 >