< Zabbuli 6 >
1 Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo.
2 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
3 Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
4 Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
5 Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe? (Sheol )
6 Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange n’omutto ne gutoba.
7 Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
8 Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
9 Mukama awulidde okwegayirira kwange, n’okusaba kwange akukkirizza.
10 Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.