< Zabbuli 59 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte. Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange; onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
למנצח אל תשחת לדוד מכתם בשלח שאול וישמרו את הבית להמיתו הצילני מאיבי אלהי ממתקוממי תשגבני׃
2 Omponye abakola ebitali bya butuukirivu, era ondokole mu batemu.
הצילני מפעלי און ומאנשי דמים הושיעני׃
3 Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita. Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama, so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
כי הנה ארבו לנפשי יגורו עלי עזים לא פשעי ולא חטאתי יהוה׃
4 Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba. Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
בלי עון ירוצון ויכוננו עורה לקראתי וראה׃
5 Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, golokoka obonereze amawanga gonna; abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
ואתה יהוה אלהים צבאות אלהי ישראל הקיצה לפקד כל הגוים אל תחן כל בגדי און סלה׃
6 Bakomawo buli kiro, nga babolooga ng’embwa, ne batambulatambula mu kibuga.
ישובו לערב יהמו ככלב ויסובבו עיר׃
7 Laba, bwe bavuma! Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala, nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
הנה יביעון בפיהם חרבות בשפתותיהם כי מי שמע׃
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera, era amawanga ago gonna oganyooma.
ואתה יהוה תשחק למו תלעג לכל גוים׃
9 Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu.
עזו אליך אשמרה כי אלהים משגבי׃
10 Katonda wange anjagala anankulemberanga, ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
אלהי חסדו יקדמני אלהים יראני בשררי׃
11 Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe, abantu bange baleme kwerabira; mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange; n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
אל תהרגם פן ישכחו עמי הניעמו בחילך והורידמו מגננו אדני׃
12 Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe, n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe leka byonna bibatege ng’omutego. Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
חטאת פימו דבר שפתימו וילכדו בגאונם ומאלה ומכחש יספרו׃
13 Bamaleewo n’ekiruyi kyo, bamalirewo ddala; amawanga gonna galyoke gategeere nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
כלה בחמה כלה ואינמו וידעו כי אלהים משל ביעקב לאפסי הארץ סלה׃
14 Bakomawo nga buwungedde nga babolooga ng’embwa, ne batambulatambula mu kibuga.
וישובו לערב יהמו ככלב ויסובבו עיר׃
15 Banoonya emmere buli wantu mu kibuga, ne bawowoggana bwe batakkuta.
המה ינועון לאכל אם לא ישבעו וילינו׃
16 Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go; mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
ואני אשיר עזך וארנן לבקר חסדך כי היית משגב לי ומנוס ביום צר לי׃
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
עזי אליך אזמרה כי אלהים משגבי אלהי חסדי׃

< Zabbuli 59 >