< Zabbuli 58 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi. Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi? Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
2 Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe; era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.
3 Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa, bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
4 Balina obusagwa ng’obw’omusota; bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
5 n’etawulira na luyimba lwa mukugu agisendasenda okugikwata.
6 Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe; owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
7 Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda. Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
8 Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo. Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!
9 Nga n’entamu tennabuguma, alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga, olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 Awo abantu bonna balyogera nti, “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa. Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”