< Zabbuli 57 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku. Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
2 Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo, Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3 Alisinzira mu ggulu n’andokola, n’amponya abo abampalana. Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
4 Mbeera wakati mu mpologoma, nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu. Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale. Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.
5 Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 Baatega ekitimba mu kkubo lyange, ne ntya nnyo; ne basimamu obunnya, ate bo bennyini ne babugwamu.
7 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
8 Zuukuka, ggwe omwoyo gwange! Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli, ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
9 Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga; ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
11 Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.