< Zabbuli 55 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda, togaya kwegayirira kwange.
達味訓誨歌,交與槳官。 天主,求你側耳傾聽我的祈禱,求你不要迴避我的哀告。
2 Ompulire era onziremu, kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
求你俯視我,並垂允我,我痛苦憂傷,嘆息悲號:
3 Mpulira amaloboozi g’abalabe bange; ababi bankanulidde amaaso ne banvuma nga bajjudde obusungu.
由於仇敵的叫囂,並因惡人的吵鬧,因加於我的災禍,怒中給我的騷擾,
4 Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange; entiisa y’okufa entuukiridde.
我的心在我胸內焦灼,死亡的恐怖籠罩了我,
5 Okutya n’okukankana binnumbye; entiisa empitiridde.
驚懼與戰慄侵襲了我,恐怖與煩惱淹沒了我。
6 Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba, nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
我於是說:但願我有鴿子般的翅膀,為能飛翔而去,棲身安藏!
7 “Nandiraze wala nnyo, ne mbeera eyo mu ddungu;
看,我必要逃往遠處,在荒涼的地方暫住;
8 nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu, eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”
從速尋找一個避難所,避過這一場風狂雨暴。
9 Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe; kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
我主,求你分散擾亂他們的語言,因我在城中只見到鬥爭與紛亂:
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro, ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
他們日夜在城牆上巡行,邪惡與欺壓在城中叢生。
11 Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo. Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
城池中已滿布詭計,霸道欺詐橫行街市。
12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma, nandikigumiikirizza; singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira, nandimwekwese.
若是我的仇人辱罵我,我還可容忍;若是惱恨我者欺凌我,我尚可退隱;
13 Naye ggwe munnange, bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
可惜是你,我的同僚,我的伙伴,我的友好;
14 Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda, nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.
我們曾經推心置腹,無所諱言,在人群中走進了天主的聖殿。
15 Okufa kubatuukirire, bakke emagombe nga bakyali balamu; kubanga bajjudde okukola ebibi. (Sheol )
願死亡突襲他們,活活的墜入陰府!因為他們的居處和內心滿是惡毒。 (Sheol )
16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda, n’andokola.
但我卻要呼號天主,上主必定予我救助。
17 Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu, ndaajana nga bwe nsinda; n’awulira eddoboozi lyange.
不論在黃昏在清晨或在中午,我哀聲悲嘆,祂必聽我的苦訴。
18 Amponyezza mu lutalo nga siriiko kintuseeko newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
祂必從迫害我的人中,救我然脫險,因為那些反對我的人,實在眾多難算。
19 Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna, aliwulira n’ababonereza abo abatakyusa makubo gaabwe era abatatya Katonda.
永遠為王的天主必要俯聽我,而把他們趕走,因為他們不知回心轉意,又不知敬愛天主。
20 Agololera emikono gye ku mikwano gye; n’amenya endagaano ye.
他們伸手攻擊自己的友好,他們任意訂立違背的盟約。
21 By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo, so nga mu mutima gwe alowooza lutalo; ebigambo bye biweweera okusinga amafuta, so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
他們的容貌比奶油更光滑,心卻是好戰;他們的言語比脂粉還柔和,但口蜜腹劍。
22 Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
將你的重擔卸交上主,祂必扶持你,祂決對不會讓義人永遠動搖不止。
23 Naye ggwe, Ayi Katonda, olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira; era abatemu n’abalimba bonna tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe. Naye nze, neesiga ggwe.
天主,求你使他們墮入滅亡的深穴!兇手和奸詐的歹徒必定中年夭折。上主,但我卻要時常一心唯你是賴。