< Zabbuli 54 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.” Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
למנצח בנגינת משכיל לדוד בבוא הזיפים ויאמרו לשאול הלא דוד מסתתר עמנו אלהים בשמך הושיעני ובגבורתך תדינני׃
2 Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
אלהים שמע תפלתי האזינה לאמרי פי׃
3 Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita.
כי זרים קמו עלי ועריצים בקשו נפשי לא שמו אלהים לנגדם סלה׃
4 Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange.
הנה אלהים עזר לי אדני בסמכי נפשי׃
5 Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo.
ישוב הרע לשררי באמתך הצמיתם׃
6 Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi.
בנדבה אזבחה לך אודה שמך יהוה כי טוב׃
7 Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.
כי מכל צרה הצילני ובאיבי ראתה עיני׃

< Zabbuli 54 >