< Zabbuli 53 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo; tewali n’omu akola kirungi.
達味訓誨歌,交與樂官,悲調。 愚妄的人心中說:「沒有天主,」他們都喪盡天良,恣意作惡。行善的人實在找不到一個。
2 Katonda atunuulira abaana b’abantu ng’asinziira mu ggulu, alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera era abamunoonya.
天主由高天俯視世人的子孫,察看有無尋覓天主的明智人,
3 Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali n’omu.
人人都離棄了正道,趨向邪惡,沒有一人行善,實在沒有一個。
4 Aboonoonyi tebaliyiga? Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere; so tebakoowoola Katonda.
那些作姦犯科的人,吞我民如食饅頭;總不呼求天主的人,豈不是愚蠢糊塗?
5 Balitya okutya okutagambika; kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be. Baliswazibwa kubanga Katonda yabanyooma.
在不應驚慌之處,他們反倒驚惶發呆;因為天主分散了那圍攻你者的骨骸,他們必將蒙羞,因天主已把他們捨棄。
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni, Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be, Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
唯願以色列人的救援來自熙雍!天主若將自己的民族命運變更,雅各伯必將喜慶,以色列必將歡騰。

< Zabbuli 53 >