< Zabbuli 52 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.” Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi? Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2 Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga kkirita era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3 Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi, n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4 Osanyukira nnyo okwogera ebirumya. Ggwe olulimi kalimbira!
5 Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusikula, akuggye mu maka go; alikugoba mu nsi y’abalamu.
6 Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde. Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7 “Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
8 Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda. Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo emirembe n’emirembe.
9 Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze. Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi; era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.