< Zabbuli 51 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya. Onsaasire, Ayi Mukama, ggwe alina okwagala okutaggwaawo. Olw’okusaasira kwo okungi nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 Nnaazaako obutali butuukirivu bwange, ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 Ebyonoono byange mbikkiriza, era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye, ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba; noolwekyo by’oyogera bituufu, era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange. Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 Onnaaze n’ezobu ntukule onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 Onzirize essanyu n’okwesiima, amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 Totunuulira bibi byange, era osangule ebyonoono byange byonna.
10 Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 Tongoba w’oli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo, era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go, n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda, ggwe Katonda ow’obulokozi bwange; olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange, n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde; n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.
18 Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima. Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu, ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa; n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.