< Zabbuli 50 >

1 Zabbuli ya Asafu. Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda, akoowoola ensi okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
מזמור לאסף אל אלהים יהוה דבר ויקרא ארץ ממזרח שמש עד מבאו׃
2 Katonda ayakaayakana ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
מציון מכלל יפי אלהים הופיע׃
3 Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise, omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera, n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
יבא אלהינו ואל יחרש אש לפניו תאכל וסביביו נשערה מאד׃
4 Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi, azze okusalira abantu be omusango.
יקרא אל השמים מעל ואל הארץ לדין עמו׃
5 Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa, abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
אספו לי חסידי כרתי בריתי עלי זבח׃
6 Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
ויגידו שמים צדקו כי אלהים שפט הוא סלה׃
7 “Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera. Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana: Nze Katonda, Katonda wo.
שמעה עמי ואדברה ישראל ואעידה בך אלהים אלהיך אנכי׃
8 Sikunenya lwa ssaddaaka zo, oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
לא על זבחיך אוכיחך ועולתיך לנגדי תמיד׃
9 Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo, wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
לא אקח מביתך פר ממכלאתיך עתודים׃
10 Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange, awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
כי לי כל חיתו יער בהמות בהררי אלף׃
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi, n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
ידעתי כל עוף הרים וזיז שדי עמדי׃
12 Singa nnumwa enjala sandikubuulidde: kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
אם ארעב לא אמר לך כי לי תבל ומלאה׃
13 Ndya ennyama y’ente ennume, wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
האוכל בשר אבירים ודם עתודים אשתה׃
14 “Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda; era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
זבח לאלהים תודה ושלם לעליון נדריך׃
15 Bw’obanga mu buzibu, nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
וקראני ביום צרה אחלצך ותכבדני׃
16 Naye omubi Katonda amugamba nti, “Lekeraawo okwatulanga amateeka gange, n’endagaano yange togyogerangako.
ולרשע אמר אלהים מה לך לספר חקי ותשא בריתי עלי פיך׃
17 Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa, n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
ואתה שנאת מוסר ותשלך דברי אחריך׃
18 Bw’olaba omubbi, ng’omukwana; era weetaba n’abenzi.
אם ראית גנב ותרץ עמו ועם מנאפים חלקך׃
19 Okolima era olimba; olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
פיך שלחת ברעה ולשונך תצמיד מרמה׃
20 Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera, era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
תשב באחיך תדבר בבן אמך תתן דפי׃
21 Ebyo byonna obikoze, ne nsirika, n’olowooza nti twenkanankana. Naye kaakano ka nkunenye, ebisobyo byonna mbikulage.
אלה עשית והחרשתי דמית היות אהיה כמוך אוכיחך ואערכה לעיניך׃
22 “Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo, nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
בינו נא זאת שכחי אלוה פן אטרף ואין מציל׃
23 Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza, era ateekateeka ekkubo ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”
זבח תודה יכבדנני ושם דרך אראנו בישע אלהים׃

< Zabbuli 50 >