< Zabbuli 5 >
1 Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi. Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange.
2 Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba.
3 Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.
4 Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi: n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era n’abalimba.
7 Naye olw’ekisa kyo ekingi, nze nnaayingiranga mu nnyumba yo: ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu n’okutya okungi.
8 Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo, olw’abalabe bange, ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9 Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda; baleke bagwe mu mitego gyabwe. Bagobe kubanga baakujeemera.
11 Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga n’essanyu, obakuumenga, abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa; era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.