< Zabbuli 47 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
למנצח לבני קרח מזמור כל העמים תקעו כף הריעו לאלהים בקול רנה׃
2 Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. Ye Kabaka afuga ensi yonna.
כי יהוה עליון נורא מלך גדול על כל הארץ׃
3 Yatujeemululira abantu, n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
ידבר עמים תחתינו ולאמים תחת רגלינו׃
4 Yatulondera omugabo gwaffe, Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
יבחר לנו את נחלתנו את גאון יעקב אשר אהב סלה׃
5 Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi. Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
עלה אלהים בתרועה יהוה בקול שופר׃
6 Mutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.
זמרו אלהים זמרו זמרו למלכנו זמרו׃
7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.
כי מלך כל הארץ אלהים זמרו משכיל׃
8 Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
מלך אלהים על גוים אלהים ישב על כסא קדשו׃
9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu; kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi. Katonda agulumizibwenga nnyo.
נדיבי עמים נאספו עם אלהי אברהם כי לאלהים מגני ארץ מאד נעלה׃

< Zabbuli 47 >