< Zabbuli 46 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2 Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3 amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4 Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5 Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera. Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6 Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa; ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
7 Mukama ow’Eggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8 Mujje, mulabe Mukama by’akola, mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9 Y’akomya entalo mu nsi yonna; akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya; amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11 Katonda ow’Eggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.