< Zabbuli 45 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola. Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka. Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
Rebosa mi corazón palabra buena. Dirijo al Rey mi canto. Mi boca es como pluma de experto escriba.
2 Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi; n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa. Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
Eres el más hermoso de los hijos de los hombres. La gracia se derramó en tus labios. Por tanto, ʼElohim te bendijo para siempre.
3 Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi, yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
¡Átate tu espada a tu cintura, oh Guerrero, Con tu esplendor y con tu majestad!
4 Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi, ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu. Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
Cabalga en tu majestad Y triunfa por la causa de la verdad, la humildad y la justicia. Que tu mano derecha te enseñe cosas asombrosas.
5 Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka; afuge amawanga.
Tus flechas son agudas. Pueblos caen debajo de Ti. Tus flechas agudas penetrarán en el corazón de los enemigos del Rey.
6 Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
Tu trono, oh ʼElohim, es eterno y para siempre. Cetro de justicia es el cetro de tu reino.
7 Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi; noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
Amaste la justicia y aborreciste la perversidad, Por tanto, te ungió ʼElohim, el ʼElohim tuyo, Con aceite de alegría más que a tus compañeros.
8 Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya. Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza mu mbiri zo ez’amasanga.
Mirra, áloe y casia exhalan todas tus ropas. Desde los palacios de marfil te recrean instrumentos de cuerda.
9 Mu bakyala bo mulimu abambejja; namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
Hijas de reyes están entre tus honorables damas. A su mano derecha está la reina con oro de Ofir.
10 Muwala, wuliriza bye nkugamba: “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
Escucha, hija, atiende, e inclina tu oído. Olvida tu pueblo y la casa de tu padre.
11 Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira; nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
Deseará el Rey tu hermosura. E inclínate ante Él, porque Él es tu ʼAdonay.
12 Muwala w’e Ttuulo alijja n’ekirabo, abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
La hija de Tiro vendrá con un presente. Los ricos entre los pueblos buscarán tu favor.
13 Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye, ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
Toda gloriosa es la princesa en su palacio. Entretejida de oro es su ropa.
14 Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi. Emperekeze ze zimuwerekerako; bonna ne bajja gy’oli.
Con ropas bordadas será llevada ante el Rey. Con compañeras vírgenes que irán tras ella Será llevada a Ti.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala, ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
Serán llevadas con alegría y regocijo. Entrarán en el palacio del Rey.
16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe, olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
En lugar de tus padres estarán tus hijos, A quienes harás príncipes en toda la tierra.
17 Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna. Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.
Haré perpetua la memoria de tu nombre en todas las generaciones, Por lo cual los pueblos te darán gracias eternamente y para siempre.