< Zabbuli 44 >
1 Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe, bajjajjaffe baatubuulira, ebyo bye wakola mu biro byabwe, mu nnaku ez’edda ezaayita.
2 Nga bwe wagoba amawanga mu nsi n’ogiwa bajjajjaffe, wasaanyaawo amawanga n’okulaakulanya bajjajjaffe.
3 Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi, n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola; wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.
4 Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange; awa Yakobo obuwanguzi.
5 Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe; ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
6 Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga, n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
7 Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe, n’oswaza abo abatuyigganya.
8 Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna. Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.
9 Naye kaakano otusudde ne tuswala; era tokyatabaala na magye gaffe.
10 Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba, abatuyigganya ne batunyaga.
11 Watuwaayo okuliibwa ng’endiga; n’otusaasaanya mu mawanga.
12 Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo, n’otobaako ky’oganyulwa.
13 Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe, ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna; era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba, amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu, olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.
17 Ebyo byonna bitutuseeko, newaakubadde nga tetukwerabidde, wadde obutagondera ndagaano yo.
18 Omutima gwaffe tegukuvuddeeko, so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege, n’otuleka mu kizikiza ekikutte.
20 Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe, ne tusinza katonda omulala,
21 ekyo Katonda waffe teyandikizudde? Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba, era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.
23 Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase? Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 Lwaki otwekwese? Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?
25 Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu; tuli ku ttaka.
26 Golokoka otuyambe; tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.