< Zabbuli 42 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi, n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
לַמְנַצֵּחַ מַשְׂכִּיל לִבְנֵי־קֹֽרַח׃ כְּאַיָּל תַּעֲרֹג עַל־אֲפִֽיקֵי־מָיִם כֵּן נַפְשִׁי תַעֲרֹג אֵלֶיךָ אֱלֹהִֽים׃
2 Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu. Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
צָמְאָה נַפְשִׁי ׀ לֵאלֹהִים לְאֵל חָי מָתַי אָבוֹא וְאֵרָאֶה פְּנֵי אֱלֹהִֽים׃
3 Nkaabirira Mukama emisana n’ekiro. Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro, abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
הָֽיְתָה־לִּי דִמְעָתִי לֶחֶם יוֹמָם וָלָיְלָה בֶּאֱמֹר אֵלַי כָּל־הַיּוֹם אַיֵּה אֱלֹהֶֽיךָ׃
4 Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene, ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu, nga tugenda mu nnyumba ya Katonda, nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
אֵלֶּה אֶזְכְּרָה ׀ וְאֶשְׁפְּכָה עָלַי ׀ נַפְשִׁי כִּי אֶֽעֱבֹר ׀ בַּסָּךְ אֶדַּדֵּם עַד־בֵּית אֱלֹהִים בְּקוֹל־רִנָּה וְתוֹדָה הָמוֹן חוֹגֵֽג׃
5 Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda, kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange; ye mubeezi wange.
מַה־תִּשְׁתּוֹחֲחִי ׀ נַפְשִׁי וַתֶּהֱמִי עָלָי הוֹחִילִי לֵֽאלֹהִים כִּי־עוֹד אוֹדֶנּוּ יְשׁוּעוֹת פָּנָֽיו׃
6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise, yeeraliikiridde; naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali.
אֱ‍ֽלֹהַי עָלַי נַפְשִׁי תִשְׁתּוֹחָח עַל־כֵּן אֶזְכָּרְךָ מֵאֶרֶץ יַרְדֵּן וְחֶרְמוֹנִים מֵהַר מִצְעָֽר׃
7 Obuziba bukoowoola obuziba, olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro amayengo n’amasingisira go bimpiseeko.
תְּהֽוֹם־אֶל־תְּהוֹם קוֹרֵא לְקוֹל צִנּוֹרֶיךָ כָּֽל־מִשְׁבָּרֶיךָ וְגַלֶּיךָ עָלַי עָבָֽרוּ׃
8 Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro ne muyimbira oluyimba lwe; y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
יוֹמָם ׀ יְצַוֶּה יְהוָה ׀ חַסְדּוֹ וּבַלַּיְלָה שירה שִׁירוֹ עִמִּי תְּפִלָּה לְאֵל חַיָּֽי׃
9 Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti, “Lwaki onneerabidde? Lwaki ŋŋenda nkungubaga olw’okujoogebwa abalabe bange?”
אוֹמְרָה ׀ לְאֵל סַלְעִי לָמָה שְׁכַחְתָּנִי לָֽמָּה־קֹדֵר אֵלֵךְ בְּלַחַץ אוֹיֵֽב׃
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange bancocca, nga bwe bagamba buli kiseera nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
בְּרֶצַח ׀ בְּֽעַצְמוֹתַי חֵרְפוּנִי צוֹרְרָי בְּאָמְרָם אֵלַי כָּל־הַיּוֹם אַיֵּה אֱלֹהֶֽיךָ׃
11 Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Weesigenga Katonda, kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era ye Katonda wange.
מַה־תִּשְׁתּוֹחֲחִי ׀ נַפְשִׁי וּֽמַה־תֶּהֱמִי עָלָי הוֹחִילִי לֽ͏ֵאלֹהִים כִּי־עוֹד אוֹדֶנּוּ יְשׁוּעֹת פָּנַי וֵֽאלֹהָֽי׃

< Zabbuli 42 >