< Zabbuli 41 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
למנצח מזמור לדוד אשרי משכיל אל דל ביום רעה ימלטהו יהוה׃
2 Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
יהוה ישמרהו ויחיהו יאשר בארץ ואל תתנהו בנפש איביו׃
3 Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; n’amuwonya mu bulumi.
יהוה יסעדנו על ערש דוי כל משכבו הפכת בחליו׃
4 Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
אני אמרתי יהוה חנני רפאה נפשי כי חטאתי לך׃
5 Abalabe bange boogeza obukyayi nti, “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
אויבי יאמרו רע לי מתי ימות ואבד שמו׃
6 Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange; naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa. Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
ואם בא לראות שוא ידבר לבו יקבץ און לו יצא לחוץ ידבר׃
7 Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama; nga banjogerako ebitali birungi.
יחד עלי יתלחשו כל שנאי עלי יחשבו רעה לי׃
8 Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo, emukubye wansi tayinza kuwona.”
דבר בליעל יצוק בו ואשר שכב לא יוסיף לקום׃
9 Era ne mukwano gwange gwe neesiganga bwe twalyanga, anneefuukidde.
גם איש שלומי אשר בטחתי בו אוכל לחמי הגדיל עלי עקב׃
10 Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
ואתה יהוה חנני והקימני ואשלמה להם׃
11 Mmanyi ng’onsanyukira, kubanga omulabe wange tampangudde.
בזאת ידעתי כי חפצת בי כי לא יריע איבי עלי׃
12 Onnywezezza mu bwesimbu bwange, ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.
ואני בתמי תמכת בי ותציבני לפניך לעולם׃
13 Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
ברוך יהוה אלהי ישראל מהעולם ועד העולם אמן ואמן׃

< Zabbuli 41 >