< Zabbuli 4 >

1 Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Bwe nkukoowoola onnyanukule, Ayi Katonda wange omutuukirivu. Bwe mba mu nnaku, onnyambe. Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.
[For the Chief Musician; on stringed instruments. A Psalm by David.] Answer me when I call, God of my righteousness. You set me free in my distress. Be gracious to me and hear my prayer.
2 Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
You sons of man, how long will you shame my honor, love what is worthless, chase after a lie? (Selah)
3 Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera. Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.
But know that the LORD works wonders for his godly one; the LORD will hear when I call to him.
4 Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire, mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
Be angry, but do not sin. Ponder in your heart, but be at rest on your bed. (Selah)
5 Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde; era mwesigenga Mukama.
Offer the sacrifices of righteousness, and put your trust in the LORD.
6 Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama, otumulisize omusana gw’amaaso go.”
Many say, "Who will show us any good?" LORD, lift up the light of your face upon us.
7 Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.
You have put gladness in my heart, more than when their grain and wine and oil abound.
8 Nnaagalamira ne nneebaka mirembe; kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.
In peace I will both lay myself down and sleep, for you alone, LORD, make me live in safety.

< Zabbuli 4 >