< Zabbuli 39 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi. Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola, n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu. Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 Naye bwe nasirika ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi, ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange. Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange; kyenava njogera nti:
4 “Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba, n’ennaku ze nsigazza; ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta. Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu. Buli muntu, mukka bukka.
6 Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize. Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu. Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 Ondokole mu bibi byange byonna, abasirusiru baleme okunsekerera.
9 Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange; kubanga kino ggwe wakikola.
10 Olekere awo okunkuba, emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola, omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye. Ddala omuntu mukka bukka.
12 Ayi Mukama, wulira okusaba kwange, owulire okukaaba kwange onnyambe. Tonsiriikirira nga nkukaabirira. Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.
13 Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno, ne mbulirawo ddala.