< Zabbuli 38 >
1 Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza. Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu, oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
A Psalm of David, for remembrance. O LORD, do not rebuke me in Your anger or discipline me in Your wrath.
2 Kubanga obusaale bwo bunfumise, n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
For Your arrows have pierced me deeply, and Your hand has pressed down on me.
3 Obusungu bwo bundwazizza nzenna, n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
There is no soundness in my body because of Your anger; there is no rest in my bones because of my sin.
4 Omusango gwe nzizizza guyitiridde, gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.
For my iniquities have overwhelmed me; they are a burden too heavy to bear.
5 Ebiwundu byange bitanye era biwunya, olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
My wounds are foul and festering because of my sinful folly.
6 Nkootakoota era mpweddemu ensa, ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
I am bent and brought low; all day long I go about mourning.
7 Omugongo gunnuma nnyo, ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
For my loins are full of burning pain, and no soundness remains in my body.
8 Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese; nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.
I am numb and badly crushed; I groan in anguish of heart.
9 Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi, n’okusinda kwange okuwulira.
O Lord, my every desire is before You; my groaning is not hidden from You.
10 Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu; n’okulaba sikyalaba.
My heart pounds, my strength fails, and even the light of my eyes has faded.
11 Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange; ne bannange tebakyansemberera.
My beloved and friends shun my disease, and my kinsmen stand at a distance.
12 Abaagala okunzita bantega emitego, n’abo abangigganya bateesa okummalawo. Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.
Those who seek my life lay snares; those who wish me harm speak destruction, plotting deceit all day long.
13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira; nga kiggala, atayogera.
But like a deaf man, I do not hear; and like a mute man, I do not open my mouth.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira, atasobola kwanukula.
I am like a man who cannot hear, whose mouth offers no reply.
15 Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama, onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
I wait for You, O LORD; You will answer, O Lord my God.
16 Tobakkiriza kunneeyagalirako, oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.
For I said, “Let them not gloat over me— those who taunt me when my foot slips.”
17 Kubanga nsemberedde okugwa, era nga nnumwa buli kiseera.
For I am ready to fall, and my pain is ever with me.
18 Ddala ddala njatula ebyonoono byange; nnumirizibwa ekibi kyange.
Yes, I confess my iniquity; I am troubled by my sin.
19 Abalabe bange bangi era ba maanyi; n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
Many are my enemies without cause, and many hate me without reason.
20 Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu, era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.
Those who repay my good with evil attack me for pursuing the good.
21 Ayi Mukama, tonjabulira; tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
Do not forsake me, O LORD; be not far from me, O my God.
22 Ayi Mukama Omulokozi wange, yanguwa okumbeera.
Come quickly to help me, O Lord my Savior.