< Zabbuli 37 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi, so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
לְדָוִד ׀ אַל־תִּתְחַר בַּמְּרֵעִים אַל־תְּקַנֵּא בְּעֹשֵׂי עַוְלָֽה׃
2 Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo, bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
כִּי כֶחָצִיר מְהֵרָה יִמָּלוּ וּכְיֶרֶק דֶּשֶׁא יִבּוֹלֽוּן׃
3 Weesigenga Mukama okolenga bulungi, onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
בְּטַח בַּיהֹוָה וַעֲשֵׂה־טוֹב שְׁכׇן־אֶרֶץ וּרְעֵה אֱמוּנָֽה׃
4 Sanyukiranga mu Mukama, anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
וְהִתְעַנַּג עַל־יְהֹוָה וְיִֽתֶּן־לְךָ מִשְׁאֲלֹת לִבֶּֽךָ׃
5 By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama; mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
גּוֹל עַל־יְהֹוָה דַּרְכֶּךָ וּבְטַח עָלָיו וְהוּא יַעֲשֶֽׂה׃
6 Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana, n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
וְהוֹצִיא כָאוֹר צִדְקֶךָ וּמִשְׁפָּטֶךָ כַּֽצׇּהֳרָֽיִם׃
7 Siriikirira awali Mukama, ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola. Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
דּוֹם ׀ לַיהֹוָה וְהִתְחוֹלֵֽל לוֹ אַל־תִּתְחַר בְּמַצְלִיחַ דַּרְכּוֹ בְּאִישׁ עֹשֶׂה מְזִמּֽוֹת׃
8 Tonyiiganga era weewale ekiruyi; teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
הֶרֶף מֵאַף וַעֲזֹב חֵמָה אַל־תִּתְחַר אַךְ־לְהָרֵֽעַ׃
9 Kubanga ababi balisalibwako, naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
כִּֽי־מְרֵעִים יִכָּרֵתוּן וְקֹוֵי יְהֹוָה הֵמָּה יִֽירְשׁוּ־אָֽרֶץ׃
10 Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala; wadde mulibanoonya temulibalabako.
וְעוֹד מְעַט וְאֵין רָשָׁע וְהִתְבּוֹנַנְתָּ עַל־מְקוֹמוֹ וְאֵינֶֽנּוּ׃
11 Naye abateefu baligabana ensi ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
וַעֲנָוִים יִֽירְשׁוּ־אָרֶץ וְהִֽתְעַנְּגוּ עַל־רֹב שָׁלֽוֹם׃
12 Ababi basalira abatuukirivu enkwe, ne babalumira obujiji.
זֹמֵם רָשָׁע לַצַּדִּיק וְחֹרֵק עָלָיו שִׁנָּֽיו׃
13 Naye Mukama asekerera ababi, kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
אֲדֹנָי יִשְׂחַק־לוֹ כִּי־רָאָה כִּֽי־יָבֹא יוֹמֽוֹ׃
14 Ababi basowoddeyo ebitala byabwe ne baleega emitego gy’obusaale, batte abaavu n’abali mu kwetaaga era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
חֶרֶב ׀ פָּתְחוּ רְשָׁעִים וְדָרְכוּ קַשְׁתָּם לְהַפִּיל עָנִי וְאֶבְיוֹן לִטְבוֹחַ יִשְׁרֵי־דָֽרֶךְ׃
15 Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini, n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.
חַרְבָּם תָּבוֹא בְלִבָּם וְקַשְּׁתוֹתָם תִּשָּׁבַֽרְנָה׃
16 Ebitono omutuukirivu by’alina bisinga obugagga bw’ababi abangi;
טוֹב־מְעַט לַצַּדִּיק מֵהֲמוֹן רְשָׁעִים רַבִּֽים׃
17 kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma, naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
כִּי זְרוֹעוֹת רְשָׁעִים תִּשָּׁבַרְנָה וְסוֹמֵךְ צַדִּיקִים יְהֹוָֽה׃
18 Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama, era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
יוֹדֵעַ יְהֹוָה יְמֵי תְמִימִם וְנַחֲלָתָם לְעוֹלָם תִּהְיֶֽה׃
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga, ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
לֹֽא־יֵבֹשׁוּ בְּעֵת רָעָה וּבִימֵי רְעָבוֹן יִשְׂבָּֽעוּ׃
20 Naye ababi balizikirira; abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale, era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.
כִּי רְשָׁעִים ׀ יֹאבֵדוּ וְאֹיְבֵי יְהֹוָה כִּיקַר כָּרִים כָּלוּ בֶעָשָׁן כָּֽלוּ׃
21 Ababi beewola, ne batasasula; naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
לֹוֶה רָשָׁע וְלֹא יְשַׁלֵּם וְצַדִּיק חוֹנֵן וְנוֹתֵֽן׃
22 Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi, naye abo b’akolimira balizikirizibwa.
כִּי מְבֹרָכָיו יִירְשׁוּ אָרֶץ וּמְקֻלָּלָיו יִכָּרֵֽתוּ׃
23 Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu, aluŋŋamya entambula ye.
מֵיְהֹוָה מִֽצְעֲדֵי־גֶבֶר כּוֹנָנוּ וְדַרְכּוֹ יֶחְפָּֽץ׃
24 Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi, kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.
כִּֽי־יִפֹּל לֹֽא־יוּטָל כִּֽי־יְהֹוָה סוֹמֵךְ יָדֽוֹ׃
25 Nnali muto kati nkaddiye, naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo, wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
נַעַר ׀ הָיִיתִי גַּם־זָקַנְתִּי וְֽלֹא־רָאִיתִי צַדִּיק נֶעֱזָב וְזַרְעוֹ מְבַקֶּשׁ־לָֽחֶם׃
26 Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu. Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
כׇּל־הַיּוֹם חוֹנֵן וּמַלְוֶה וְזַרְעוֹ לִבְרָכָֽה׃
27 Muve mu bibi, mukolenga ebirungi, munaabanga balamu emirembe gyonna.
סוּר מֵרָע וַעֲשֵׂה־טוֹב וּשְׁכֹן לְעוֹלָֽם׃
28 Kubanga Mukama ayagala ab’amazima, n’abeesigwa be taabaabulirenga. Banaalabirirwanga emirembe gyonna; naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
כִּי יְהֹוָה ׀ אֹהֵב מִשְׁפָּט וְלֹא־יַעֲזֹב אֶת־חֲסִידָיו לְעוֹלָם נִשְׁמָרוּ וְזֶרַע רְשָׁעִים נִכְרָֽת׃
29 Abatuukirivu baligabana ensi ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
צַדִּיקִים יִֽירְשׁוּ־אָרֶץ וְיִשְׁכְּנוּ לָעַד עָלֶֽיהָ׃
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi, n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
פִּֽי־צַדִּיק יֶהְגֶּה חׇכְמָה וּלְשׁוֹנוֹ תְּדַבֵּר מִשְׁפָּֽט׃
31 Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe, era ebigere bye tebiseerera.
תּוֹרַת אֱלֹהָיו בְּלִבּוֹ לֹא תִמְעַד אֲשֻׁרָֽיו׃
32 Omubi ateega omutuukirivu ng’anoonya okumutta,
צוֹפֶה רָשָׁע לַצַּדִּיק וּמְבַקֵּשׁ לַהֲמִיתֽוֹ׃
33 naye Mukama taliganya babi kuwangula, wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.
יְהֹוָה לֹא־יַעַזְבֶנּוּ בְיָדוֹ וְלֹא יַרְשִׁיעֶנּוּ בְּהִשָּׁפְטֽוֹ׃
34 Lindirira Mukama n’okugumiikiriza, otambulirenga mu makubo ge; naye alikugulumiza n’akuwa ensi; ababi bwe balisalirwako olikitegeera.
קַוֵּה אֶל־יְהֹוָה ׀ וּשְׁמֹר דַּרְכּוֹ וִֽירוֹמִמְךָ לָרֶשֶׁת אָרֶץ בְּהִכָּרֵת רְשָׁעִים תִּרְאֶֽה׃
35 Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi, ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
רָאִיתִי רָשָׁע עָרִיץ וּמִתְעָרֶה כְּאֶזְרָח רַעֲנָֽן׃
36 naye teyalwawo n’abula, ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
וַֽיַּעֲבֹר וְהִנֵּה אֵינֶנּוּ וָאֲבַקְשֵׁהוּ וְלֹא נִמְצָֽא׃
37 Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu; obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
שְׁמׇר־תָּם וּרְאֵה יָשָׁר כִּֽי־אַחֲרִית לְאִישׁ שָׁלֽוֹם׃
38 Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa; ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.
וּֽפֹשְׁעִים נִשְׁמְדוּ יַחְדָּו אַחֲרִית רְשָׁעִים נִכְרָֽתָה׃
39 Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama; ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
וּתְשׁוּעַת צַדִּיקִים מֵיְהֹוָה מָעוּזָּם בְּעֵת צָרָֽה׃
40 Mukama abayamba n’abalokola; abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola, kubanga gy’ali gye baddukira.
וַיַּעְזְרֵם יְהֹוָה וַֽיְפַלְּטֵם יְפַלְּטֵם מֵרְשָׁעִים וְיוֹשִׁיעֵם כִּי־חָסוּ בֽוֹ׃

< Zabbuli 37 >