< Zabbuli 36 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnina obubaka mu mutima gwange obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi. N’okutya tatya Katonda.
2 Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera oba okukyawa ekibi kye.
3 Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba; takyalina magezi era takyakola birungi.
4 Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola; amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu, era ebitali bituufu tabyewala.
5 Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu; obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6 Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene, n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo. Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
7 Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa baddukira mu biwaawaatiro byo.
8 Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta; obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
9 Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu, era gw’otwakiza omusana.
10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera, era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira, wadde ababi okunsindiikiriza.
12 Laba, ababi nga bwe bagudde! Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.