< Zabbuli 35 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya, lwanyisa abo abannwanyisa.
`To Dauid. Lord, deme thou hem, that anoien me; ouercome thou hem, that fiyten ayens me.
2 Golokoka okwate engabo, n’akagabo onziruukirire.
Take thou armeris and scheeld; and rise vp into help to me.
3 Galula effumu, abangigganya obazibire ekkubo; otegeeze omwoyo gwange nti, “Nze bulokozi bwo.”
Schede out the swerd, and close togidere ayens hem that pursuen me; seie thou to my soule, Y am thin helthe.
4 Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe era baswazibwe; abo abateesa okunsanyaawo bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
Thei that seken my lijf; be schent, and aschamed. Thei that thenken yuels to me; be turned awei bacward, and be schent.
5 Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo, malayika wa Mukama ng’abagoba.
Be thei maad as dust bifor the face of the wynd; and the aungel of the Lord make hem streit.
6 Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.
Her weie be maad derknesse, and slydirnesse; and the aungel of the Lord pursue hem.
7 Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze, ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
For with out cause thei hidden to me the deth of her snare; in veyn thei dispisiden my soule.
8 bazikirizibwe nga tebategedde, n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu, era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
The snare which he knoweth not come to hym, and the takyng which he hidde take hym; and fall he in to the snare in that thing.
9 Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama, ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
But my soule schal fulli haue ioye in the Lord; and schal delite on his helthe.
10 Amagumba gange galyogera nti, “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama? Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi, n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”
Alle my boonys schulen seie, Lord, who is lijk thee? Thou delyuerist a pore man fro the hond of his strengere; a nedi man and pore fro hem that diuersely rauischen hym.
11 Abajulizi abakambwe bagolokoka ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
Wickid witnessis risynge axiden me thingis, whiche Y knewe not.
12 Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi, ne banakuwaza omwoyo gwange.
Thei yeldiden to me yuels for goodis; bareynnesse to my soule.
13 So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu, ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe, naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
But whanne thei weren diseseful to me; Y was clothid in an heire. I mekide my soule in fastyng; and my preier schal be turned `with ynne my bosum.
14 ne mbeera mu nnaku ng’ankungubagira ow’omukwano oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike ng’akaabira nnyina.
I pleside so as oure neiybore, as oure brother; Y was `maad meke so as morenynge and sorewful.
15 Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse; ne bannumba nga simanyi, ne bampayiriza obutata.
And thei weren glad, and camen togidere ayens me; turmentis weren gaderid on me, and Y knew not.
16 Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola, ne bannumira obujiji.
Thei weren scaterid, and not compunct, thei temptiden me, thei scornyden me with mowyng; thei gnastiden on me with her teeth.
17 Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi? Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa, obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
Lord, whanne thou schalt biholde, restore thou my soule fro the wickidnesse of hem; `restore thou myn oon aloone fro liouns.
18 Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu, ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
I schal knowleche to thee in a greet chirche; Y schal herie thee in a sad puple.
19 Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako, abankyawa awatali nsonga; abankyayira obwereere tobakkiriza kunziimuula.
Thei that ben aduersaries wickidli to me, haue not ioye on me; that haten me with out cause, and bikenen with iyen.
20 Teboogera bya mirembe, wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
For sotheli thei spaken pesibli to me; and thei spekynge in wrathfulnesse of erthe thouyten giles.
21 Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti, “Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”
And thei maden large her mouth on me; thei seiden, Wel, wel! oure iyen han sien.
22 Bino byonna obirabye, Ayi Mukama. Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
Lord, thou hast seen, be thou not stille; Lord, departe thou not fro me.
23 Golokoka ojje onnyambe; nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
Rise vp, and yyue tent to my doom; my God and my Lord, biholde in to my cause.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange, tobaganya kunneeyagalirako.
Mi Lord God, deme thou me bi thi riytfulnesse; and haue thei not ioye on me.
25 Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!” Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”
Seie thei not in her hertis, Wel, wel, to oure soule; nether seie thei, We schulen deuoure hym.
26 Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa, batabulwetabulwe era baswazibwe; abo bonna abanneegulumirizaako baswazibwe era banyoomebwe.
Shame thei, and drede thei togidere; that thanken for myn yuels. Be thei clothid with schame and drede; that speken yuele thingis on me.
27 Abo abasanyuka ng’annejjeereza, baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya; era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe, asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
Haue thei ful ioie, and be thei glad that wolen my riytfulnesse; and seie thei euere, The Lord be magnyfied, whiche wolen the pees of his seruaunt.
28 Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
And my tunge schal bithenke thi riytfulnesse; al day thin heriyng.

< Zabbuli 35 >