< Zabbuli 34 >

1 Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira. Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera, akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
לדוד-- בשנותו את-טעמו לפני אבימלך ויגרשהו וילך ב אברכה את-יהוה בכל-עת תמיד תהלתו בפי
2 Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama; ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
ביהוה תתהלל נפשי ישמעו ענוים וישמחו
3 Kale tutendereze Mukama, ffenna tugulumizenga erinnya lye.
גדלו ליהוה אתי ונרוממה שמו יחדו
4 Nanoonya Mukama, n’annyanukula; n’ammalamu okutya kwonna.
דרשתי את-יהוה וענני ומכל-מגורותי הצילני
5 Abamwesiga banajjulanga essanyu, era tebaaswalenga.
הביטו אליו ונהרו ופניהם אל-יחפרו
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula, n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
זה עני קרא ויהוה שמע ומכל-צרותיו הושיעו
7 Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, n’abawonya.
חנה מלאך-יהוה סביב ליראיו ויחלצם
8 Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! Balina omukisa abaddukira gy’ali.
טעמו וראו כי-טוב יהוה אשרי הגבר יחסה-בו
9 Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be, kubanga abamutya tebaajulenga.
יראו את-יהוה קדשיו כי-אין מחסור ליראיו
10 Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi; naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
כפירים רשו ורעבו ודרשי יהוה לא-יחסרו כל-טוב
11 Mujje wano baana bange, mumpulirize; mbayigirize okutya Mukama.
לכו-בנים שמעו-לי יראת יהוה אלמדכם
12 Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi, okuba mu ssanyu emyaka emingi?
מי-האיש החפץ חיים אהב ימים לראות טוב
13 Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana, n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
נצר לשונך מרע ושפתיך מדבר מרמה
14 Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi; noonya emirembe era ogigobererenga.
סור מרע ועשה-טוב בקש שלום ורדפהו
15 Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
עיני יהוה אל-צדיקים ואזניו אל-שועתם
16 Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi, okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
פני יהוה בעשי רע להכרית מארץ זכרם
17 Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
צעקו ויהוה שמע ומכל-צרותם הצילם
18 Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
קרוב יהוה לנשברי-לב ואת-דכאי-רוח יושיע
19 Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi, naye byonna Mukama abimuyisaamu.
רבות רעות צדיק ומכלם יצילנו יהוה
20 Amagumba ge gonna Mukama agakuuma, ne watabaawo na limu limenyeka.
שמר כל-עצמותיו אחת מהנה לא נשברה
21 Ekibi kiritta abakola ebibi, n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
תמותת רשע רעה ושנאי צדיק יאשמו
22 Mukama anunula abaweereza be; so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.
פדה יהוה נפש עבדיו ולא יאשמו כל-החסים בו

< Zabbuli 34 >