< Zabbuli 33 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu; kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
רַנְּנ֣וּ צַ֭דִּיקִים בַּֽיהוָ֑ה לַ֝יְשָׁרִ֗ים נָאוָ֥ה תְהִלָּֽה׃
2 Mutendereze Mukama n’ennanga, mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
הֹוד֣וּ לַיהוָ֣ה בְּכִנֹּ֑ור בְּנֵ֥בֶל עָ֝שֹׂ֗ור זַמְּרוּ־לֹֽו׃
3 Mumuyimbire oluyimba oluggya; musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.
שִֽׁירוּ־לֹ֖ו שִׁ֣יר חָדָ֑שׁ הֵיטִ֥יבוּ נַ֝גֵּ֗ן בִּתְרוּעָֽה׃
4 Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima; mwesigwa mu buli ky’akola.
כִּֽי־יָשָׁ֥ר דְּבַר־יְהוָ֑ה וְכָל־מַ֝עֲשֵׂ֗הוּ בֶּאֱמוּנָֽה׃
5 Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya. Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
אֹ֭הֵב צְדָקָ֣ה וּמִשְׁפָּ֑ט חֶ֥סֶד יְ֝הוָ֗ה מָלְאָ֥ה הָאָֽרֶץ׃
6 Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa; n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
בִּדְבַ֣ר יְ֭הוָה שָׁמַ֣יִם נַעֲשׂ֑וּ וּבְר֥וּחַ פִּ֝֗יו כָּל־צְבָאָֽם׃
7 Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu, agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
כֹּנֵ֣ס כַּ֭נֵּד מֵ֣י הַיָּ֑ם נֹתֵ֖ן בְּאֹצָרֹ֣ות תְּהֹומֹֽות׃
8 Ensi yonna esaana etyenga Mukama, n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
יִֽירְא֣וּ מֵ֭יְהוָה כָּל־הָאָ֑רֶץ מִמֶּ֥נּוּ יָ֝ג֗וּרוּ כָּל־יֹשְׁבֵ֥י תֵבֵֽל׃
9 kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa, n’alagira n’eyimirira nga nywevu.
כִּ֤י ה֣וּא אָמַ֣ר וַיֶּ֑הִי הֽוּא־צִ֝וָּ֗ה וֽ͏ַיַּעֲמֹֽד׃
10 Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga; alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
יְֽהוָ֗ה הֵפִ֥יר עֲצַת־גֹּויִ֑ם הֵ֝נִ֗יא מַחְשְׁבֹ֥ות עַמִּֽים׃
11 Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.
עֲצַ֣ת יְ֭הוָה לְעֹולָ֣ם תַּעֲמֹ֑ד מַחְשְׁבֹ֥ות לִ֝בֹּ֗ו לְדֹ֣ר וָדֹֽר׃
12 Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo, ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
אַשְׁרֵ֣י הַ֭גֹּוי אֲשֶׁר־יְהוָ֣ה אֱלֹהָ֑יו הָעָ֓ם ׀ בָּחַ֖ר לְנַחֲלָ֣ה לֹֽו׃
13 Mukama asinziira mu ggulu n’alaba abaana b’abantu bonna;
מִ֭שָּׁמַיִם הִבִּ֣יט יְהוָ֑ה רָ֝אָ֗ה אֶֽת־כָּל־בְּנֵ֥י הָאָדָֽם׃
14 asinziira mu kifo kye mw’abeera n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
מִֽמְּכֹון־שִׁבְתֹּ֥ו הִשְׁגִּ֑יחַ אֶ֖ל כָּל־יֹשְׁבֵ֣י הָאָֽרֶץ׃
15 Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna ne yeetegereza byonna bye bakola.
הַיֹּצֵ֣ר יַ֣חַד לִבָּ֑ם הַ֝מֵּבִ֗ין אֶל־כָּל־מַעֲשֵׂיהֶֽם׃
16 Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye; era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
אֵֽין־הַ֭מֶּלֶךְ נֹושָׁ֣ע בְּרָב־חָ֑יִל גִּ֝בֹּ֗ור לֹֽא־יִנָּצֵ֥ל בְּרָב־כֹּֽחַ׃
17 Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere; newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
שֶׁ֣קֶר הַ֭סּוּס לִתְשׁוּעָ֑ה וּבְרֹ֥ב חֵ֝ילֹ֗ו לֹ֣א יְמַלֵּֽט׃
18 Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya; abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
הִנֵּ֤ה עֵ֣ין יְ֭הוָה אֶל־יְרֵאָ֑יו לַֽמְיַחֲלִ֥ים לְחַסְדֹּֽו׃
19 abawonya okufa, era abawonya enjala.
לְהַצִּ֣יל מִמָּ֣וֶת נַפְשָׁ֑ם וּ֝לְחַיֹּותָ֗ם בָּרָעָֽב׃
20 Tulindirira Mukama nga tulina essuubi, kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
נַ֭פְשֵׁנוּ חִכְּתָ֣ה לַֽיהוָ֑ה עֶזְרֵ֖נוּ וּמָגִנֵּ֣נוּ הֽוּא׃
21 Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza, kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
כִּי־בֹ֭ו יִשְׂמַ֣ח לִבֵּ֑נוּ כִּ֤י בְשֵׁ֖ם קָדְשֹׁ֣ו בָטָֽחְנוּ׃
22 Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe, Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.
יְהִֽי־חַסְדְּךָ֣ יְהוָ֣ה עָלֵ֑ינוּ כַּ֝אֲשֶׁ֗ר יִחַ֥לְנוּ לָֽךְ׃

< Zabbuli 33 >