< Zabbuli 31 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange, leka nneme kuswazibwa. Ndokola mu butuukirivu bwo.
לַמְנַצֵּ֗חַ מִזְמ֥וֹר לְדָוִֽד׃ בְּךָ֖ יְהוָ֣ה חָ֭סִיתִי אַל־אֵב֣וֹשָׁה לְעוֹלָ֑ם בְּצִדְקָתְךָ֥ פַלְּטֵֽנִי׃
2 Ontegere okutu kwo oyanguwe okunziruukirira. Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
הַטֵּ֤ה אֵלַ֨י ׀ אָזְנְךָ֮ מְהֵרָ֪ה הַצִּ֫ילֵ֥נִי הֱיֵ֤ה לִ֨י ׀ לְֽצוּר־מָ֭עוֹז לְבֵ֥ית מְצוּד֗וֹת לְהוֹשִׁיעֵֽנִי׃
3 Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange; olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
כִּֽי־סַלְעִ֣י וּמְצוּדָתִ֣י אָ֑תָּה וּלְמַ֥עַן שִׁ֝מְךָ֗ תַּֽנְחֵ֥נִי וּֽתְנַהֲלֵֽנִי׃
4 Omponye mu mutego gwe banteze; kubanga ggwe kiddukiro kyange.
תּוֹצִיאֵ֗נִי מֵרֶ֣שֶׁת ז֭וּ טָ֣מְנוּ לִ֑י כִּֽי־אַ֝תָּה מָֽעוּזִּֽי׃
5 Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo; ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
בְּיָדְךָ֮ אַפְקִ֪יד ר֫וּחִ֥י פָּדִ֖יתָה אוֹתִ֥י יְהוָ֗ה אֵ֣ל אֱמֶֽת׃
6 Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala; nze nneesiga Mukama.
שָׂנֵ֗אתִי הַשֹּׁמְרִ֥ים הַבְלֵי־שָׁ֑וְא וַ֝אֲנִ֗י אֶל־יְהוָ֥ה בָּטָֽחְתִּי׃
7 Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo, kubanga olabye okubonaabona kwange era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
אָגִ֥ילָה וְאֶשְׂמְחָ֗ה בְּחַ֫סְדֶּ֥ךָ אֲשֶׁ֣ר רָ֭אִיתָ אֶת־עָנְיִ֑י יָ֝דַ֗עְתָּ בְּצָר֥וֹת נַפְשִֽׁי׃
8 Tompaddeeyo mu balabe bange, naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
וְלֹ֣א הִ֭סְגַּרְתַּנִי בְּיַד־אוֹיֵ֑ב הֶֽעֱמַ֖דְתָּ בַמֶּרְחָ֣ב רַגְלָֽי׃
9 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olw’ennaku; omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
חָנֵּ֥נִי יְהוָה֮ כִּ֤י צַ֫ר־לִ֥י עָשְׁשָׁ֖ה בְכַ֥עַס עֵינִ֗י נַפְשִׁ֥י וּבִטְנִֽי׃
10 Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange ne giggwaawo olw’okusinda. Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange, n’amagumba ganafuye.
כִּ֤י כָל֪וּ בְיָג֡וֹן חַיַּי֮ וּשְׁנוֹתַ֪י בַּאֲנָ֫חָ֥ה כָּשַׁ֣ל בַּעֲוֹנִ֣י כֹחִ֑י וַעֲצָמַ֥י עָשֵֽׁשׁוּ׃
11 Abalabe bange bonna bansekerera, banneetamiddwa. Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange, n’abandaba mu kkubo banziruka.
מִכָּל־צֹרְרַ֨י הָיִ֪יתִי חֶרְפָּ֡ה וְלִשֲׁכֵנַ֨י ׀ מְאֹד֮ וּפַ֪חַד לִֽמְיֻדָּ֫עָ֥י רֹאַ֥י בַּח֑וּץ נָדְד֥וּ מִמֶּֽנִּי׃
12 Nneerabiddwa ng’eyafa edda; nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
נִ֭שְׁכַּחְתִּי כְּמֵ֣ת מִלֵּ֑ב הָ֝יִ֗יתִי כִּכְלִ֥י אֹבֵֽד׃
13 Buli ludda mpulirayo obwama nga bangeya; bye banteesaako nga basala olukwe okunzita.
כִּ֤י שָׁמַ֨עְתִּי ׀ דִּבַּ֥ת רַבִּים֮ מָג֪וֹר מִסָּ֫בִ֥יב בְּהִוָּסְדָ֣ם יַ֣חַד עָלַ֑י לָקַ֖חַת נַפְשִׁ֣י זָמָֽמוּ׃
14 Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama; nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
וַאֲנִ֤י ׀ עָלֶ֣יךָ בָטַ֣חְתִּי יְהוָ֑ה אָ֝מַ֗רְתִּי אֱלֹהַ֥י אָֽתָּה׃
15 Entuuko zange ziri mu mikono gyo; ondokole mu mikono gy’abalabe bange n’abangigganya.
בְּיָדְךָ֥ עִתֹּתָ֑י הַצִּ֘ילֵ֤נִי מִיַּד־א֝וֹיְבַ֗י וּמֵרֹדְפָֽי׃
16 Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo; ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
הָאִ֣ירָה פָ֭נֶיךָ עַל־עַבְדֶּ֑ךָ ה֖וֹשִׁיעֵ֣נִי בְחַסְדֶּֽךָ׃
17 Ayi Mukama tondeka kuswazibwa, kubanga nkukoowoola; leka abo ababi baswale, era bagalamire emagombe nga basirise. (Sheol h7585)
יְֽהוָ֗ה אַל־אֵ֭בוֹשָׁה כִּ֣י קְרָאתִ֑יךָ יֵבֹ֥שׁוּ רְ֝שָׁעִ֗ים יִדְּמ֥וּ לִשְׁאֽוֹל׃ (Sheol h7585)
18 Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba kasirisibwe, kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo, nga babyogeza amalala n’okunyooma.
תֵּ֥אָלַ֗מְנָה שִׂפְתֵ֫י שָׁ֥קֶר הַדֹּבְר֖וֹת עַל־צַדִּ֥יק עָתָ֗ק בְּגַאֲוָ֥ה וָבֽוּז׃
19 Obulungi bwo, bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu, n’obuwa mu lwatu abo abaddukira gy’oli.
מָ֤ה רַֽב־טוּבְךָ֮ אֲשֶׁר־צָפַ֪נְתָּ לִּֽירֵ֫אֶ֥יךָ פָּ֭עַלְתָּ לַחֹסִ֣ים בָּ֑ךְ נֶ֝֗גֶד בְּנֵ֣י אָדָם׃
20 Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe, n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo, n’ennyombo z’abantu ne zitabatuukako.
תַּסְתִּירֵ֤ם ׀ בְּסֵ֥תֶר פָּנֶיךָ֮ מֵֽרֻכְסֵ֫י אִ֥ישׁ תִּצְפְּנֵ֥ם בְּסֻכָּ֗ה מֵרִ֥יב לְשֹׁנֽוֹת׃
21 Mukama atenderezebwenga kubanga yandaga okwagala kwe okungi, bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
בָּר֥וּךְ יְהוָ֑ה כִּ֥י הִפְלִ֘יא חַסְדּ֥וֹ לִ֝֗י בְּעִ֣יר מָצֽוֹר׃
22 Bwe natya ennyo ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.” Kyokka wampulira nga nkukaabirira n’onsaasira.
וַאֲנִ֤י ׀ אָ֘מַ֤רְתִּי בְחָפְזִ֗י נִגְרַזְתִּי֮ מִנֶּ֪גֶד עֵ֫ינֶ֥יךָ אָכֵ֗ן שָׁ֭מַעְתָּ ק֥וֹל תַּחֲנוּנַ֗י בְּשַׁוְּעִ֥י אֵלֶֽיךָ׃
23 Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna! Mukama akuuma abo abamwesiga, naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
אֶֽהֱב֥וּ אֶת־יְהוָ֗ה כָּֽל־חֲסִ֫ידָ֥יו אֱ֭מוּנִים נֹצֵ֣ר יְהוָ֑ה וּמְשַׁלֵּ֥ם עַל־יֶ֝֗תֶר עֹשֵׂ֥ה גַאֲוָֽה׃
24 Muddeemu amaanyi mugume omwoyo mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.
חִ֭זְקוּ וְיַאֲמֵ֣ץ לְבַבְכֶ֑ם כָּל־הַ֝מְיַחֲלִ֗ים לַיהוָֽה׃

< Zabbuli 31 >