< Zabbuli 3 >

1 Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu. Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
מִזְמוֹר לְדָוִד בְּבָרְחוֹ מִפְּנֵי ׀ אַבְשָׁלוֹם בְּנֽוֹ׃ יְהוָה מָֽה־רַבּוּ צָרָי רַבִּים קָמִים עָלָֽי׃
2 Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.”
רַבִּים אֹמְרִים לְנַפְשִׁי אֵין יְֽשׁוּעָתָה לּוֹ בֵֽאלֹהִים סֶֽלָה׃
3 Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
וְאַתָּה יְהוָה מָגֵן בַּעֲדִי כְּבוֹדִי וּמֵרִים רֹאשִֽׁי׃
4 Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
קוֹלִי אֶל־יְהוָה אֶקְרָא וַיַּֽעֲנֵנִי מֵהַר קָדְשׁוֹ סֶֽלָה׃
5 Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira.
אֲנִי שָׁכַבְתִּי וָֽאִישָׁנָה הֱקִיצוֹתִי כִּי יְהוָה יִסְמְכֵֽנִי׃
6 Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange abanneetoolodde, okunnumba.
לֹֽא־אִירָא מֵרִבְבוֹת עָם אֲשֶׁר סָבִיב שָׁתוּ עָלָֽי׃
7 Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi.
קוּמָה יְהוָה ׀ הוֹשִׁיעֵנִי אֱלֹהַי כִּֽי־הִכִּיתָ אֶת־כָּל־אֹיְבַי לֶחִי שִׁנֵּי רְשָׁעִים שִׁבַּֽרְתָּ׃
8 Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.
לַיהוָה הַיְשׁוּעָה עַֽל־עַמְּךָ בִרְכָתֶךָ סֶּֽלָה׃

< Zabbuli 3 >