< Zabbuli 29 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi. Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
מִזְמוֹר לְדָוִד הָבוּ לֽ͏ַיהוָה בְּנֵי אֵלִים הָבוּ לַיהוָה כָּבוֹד וָעֹֽז׃
2 Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
הָבוּ לַֽיהוָה כְּבוֹד שְׁמוֹ הִשְׁתַּחֲווּ לַיהוָה בְּהַדְרַת־קֹֽדֶשׁ׃
3 Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi; Katonda ow’ekitiibwa abwatuka, n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
קוֹל יְהוָה עַל־הַמָּיִם אֵֽל־הַכָּבוֹד הִרְעִים יְהוָה עַל־מַיִם רַבִּֽים׃
4 Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
קוֹל־יְהוָה בַּכֹּחַ קוֹל יְהוָה בֶּהָדָֽר׃
5 Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
קוֹל יְהוָה שֹׁבֵר אֲרָזִים וַיְשַׁבֵּר יְהוָה אֶת־אַרְזֵי הַלְּבָנֽוֹן׃
6 Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana, ne Siriyooni ng’ennyana y’embogo.
וַיַּרְקִידֵם כְּמוֹ־עֵגֶל לְבָנוֹן וְשִׂרְיֹן כְּמוֹ בֶן־רְאֵמִֽים׃
7 Eddoboozi lya Mukama libwatukira mu kumyansa.
קוֹל־יְהוָה חֹצֵב לַהֲבוֹת אֵֽשׁ׃
8 Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
קוֹל יְהוָה יָחִיל מִדְבָּר יָחִיל יְהוָה מִדְבַּר קָדֵֽשׁ׃
9 Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
קוֹל יְהוָה ׀ יְחוֹלֵל אַיָּלוֹת וַֽיֶּחֱשֹׂף יְעָרוֹת וּבְהֵיכָלוֹ כֻּלּוֹ אֹמֵר כָּבֽוֹד׃
10 Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka. Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
יְהוָה לַמַּבּוּל יָשָׁב וַיֵּשֶׁב יְהוָה מֶלֶךְ לְעוֹלָֽם׃
11 Mukama awa abantu be amaanyi; Mukama awa abantu be emirembe.
יְֽהוָה עֹז לְעַמּוֹ יִתֵּן יְהוָה ׀ יְבָרֵךְ אֶת־עַמּוֹ בַשָּׁלֽוֹם׃

< Zabbuli 29 >