< Zabbuli 28 >
1 Zabbuli ya Dawudi. Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange, tolema kumpuliriza; kubanga bw’onoonsiriikirira nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange, nga mpanise emikono gyange okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu, nga nkukaabirira okunnyamba.
3 Tontwalira mu boonoonyi, abakola ebibi; abanyumya obulungi ne bannaabwe, so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri, n’olw’ebyambyone bye bakoze. Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza, obabonereze nga bwe basaanidde.
5 Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama, oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye, alibazikiririza ddala, era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama, kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
8 Mukama y’awa abantu be amaanyi, era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
9 Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo. Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.