< Zabbuli 26 >
1 Zabbuli ya Dawudi. Onnejjeereze, Ayi Mukama, kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa; nneesiga ggwe, Ayi Mukama, nga sibuusabuusa.
2 Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese; weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mu mazima go mwe ntambulira.
4 Situula na bantu balimba, so siteesaganya na bakuusa.
5 Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi; so situula na bakozi ba bibi.
6 Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango; ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza, olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama, kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 Tombalira mu boonoonyi, wadde mu batemu,
10 abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi, era abali b’enguzi.
11 Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa; nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 Nnyimiridde watereevu. Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.