< Zabbuli 25 >
1 Zabbuli ya Dawudi. Eri ggwe, Ayi Mukama, gye ndeeta okusaba kwange.
2 Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga, naye ab’enkwe baliswazibwa.
4 Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama, ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna; kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6 Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi, kubanga byava dda.
7 Tojjukira bibi byange n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange. Onzijukire, Ayi Mukama, ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
8 Mukama mulungi, era wa mazima, noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9 Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu n’abayigiriza ekkubo lye.
10 Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
12 Omuntu wa ngeri ki atya Katonda? Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda, era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 Mikwano gya Mukama be bo abamugondera; anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 Ntunuulira Mukama buli kiseera, kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
16 Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa, kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange; mponya okweraliikirira kwange.
18 Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange; onzigyeko ebibi byange byonna.
19 Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi n’okunkyawa kwe bankyawamu!
20 Labiriranga obulamu bwange, obamponye; tondekanga mu buswavu, kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 Amazima n’obulongoofu bindabirirenga, essubi lyange liri mu ggwe.
22 Nunula Isirayiri, Ayi Katonda, omuwonye emitawaana gye gyonna.