< Zabbuli 22 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde? Lwaki ogaana okunnyamba wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
in finem pro adsumptione matutina psalmus David Deus Deus meus respice me quare me dereliquisti longe a salute mea verba delictorum meorum
2 Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula; n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.
Deus meus clamabo per diem et non exaudies et nocte et non ad insipientiam mihi
3 Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe, era ettendo lya Isirayiri yonna.
tu autem in sancto habitas Laus Israhel
4 Bajjajjaffe baakwesiganga; baakwesiga naawe n’obawonya.
in te speraverunt patres nostri speraverunt et liberasti eos
5 Baakukoowoolanga n’obalokola; era baakwesiganga ne batajulirira.
ad te clamaverunt et salvi facti sunt in te speraverunt et non sunt confusi
6 Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu; abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
ego autem sum vermis et non homo obprobrium hominum et abiectio plebis
7 Bonna abandaba banduulira, era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
omnes videntes me deriserunt me locuti sunt labiis moverunt caput
8 “Yeesiga Mukama; kale amuwonye. Obanga Mukama amwagala, kale nno amulokole!”
speravit in Domino eripiat eum salvum faciat eum quoniam vult eum
9 Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange, era wampa okukwesiga ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
quoniam tu es qui extraxisti me de ventre spes mea ab uberibus matris meae
10 Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo; olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.
in te proiectus sum ex utero de ventre matris meae Deus meus es tu
11 Tobeera wala nange, kubanga emitawaana ginsemberedde, ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.
ne discesseris a me quoniam tribulatio proxima est quoniam non est qui adiuvet
12 Zisseddume nnyingi zinneetoolodde, zisseddume enkambwe ez’e Basani zinzingizizza.
circumdederunt me vituli multi tauri pingues obsederunt me
13 Banjasamiza akamwa kaabwe ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
aperuerunt super me os suum sicut leo rapiens et rugiens
14 Ngiyiddwa ng’amazzi, n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago. Omutima gwange guli ng’obubaane, era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
sicut aqua effusus sum et dispersa sunt universa ossa mea factum est cor meum tamquam cera liquescens in medio ventris mei
15 Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo; n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange. Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.
aruit tamquam testa virtus mea et lingua mea adhesit faucibus meis et in limum mortis deduxisti me
16 Abantu ababi banneetoolodde; banneebunguludde ng’embwa ennyingi; banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
quoniam circumdederunt me canes multi concilium malignantium obsedit me foderunt manus meas et pedes meos
17 Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala. Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
dinumeraverunt omnia ossa mea ipsi vero consideraverunt et inspexerunt me
18 Bagabana engoye zange; era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
diviserunt sibi vestimenta mea et super vestem meam miserunt sortem
19 Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange. Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
tu autem Domine ne elongaveris auxilium tuum ad defensionem meam conspice
20 Omponye okuttibwa n’ekitala; obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
erue a framea animam meam et de manu canis unicam meam
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma, omponye amayembe g’embogo enkambwe.
salva me ex ore leonis et a cornibus unicornium humilitatem meam
22 Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda; nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
narrabo nomen tuum fratribus meis in media ecclesia laudabo te
23 Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga; era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
qui timetis Dominum laudate eum universum semen Iacob magnificate eum
24 Kubanga tanyooma kwaziirana kw’abo abali mu nnaku, era tabeekweka, wabula abaanukula bwe bamukoowoola.
timeat eum omne semen Israhel quoniam non sprevit neque dispexit deprecationem pauperis nec avertit faciem suam a me et cum clamarem ad eum exaudivit me
25 Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde. Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
apud te laus mea in ecclesia magna vota mea reddam in conspectu timentium eum
26 Abaavu banaalyanga ne bakkuta, abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga. Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.
edent pauperes et saturabuntur et laudabunt Dominum qui requirunt eum vivent corda eorum in saeculum saeculi
27 Ensi zonna zirijjukira ne zikyukira Mukama, ebika byonna eby’amawanga gonna birimuvuunamira.
reminiscentur et convertentur ad Dominum universi fines terrae et adorabunt in conspectu eius universae familiae gentium
28 Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama, era y’afuga amawanga gonna.
quoniam Dei est regnum et ipse dominabitur gentium
29 Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza. Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira, abatakyali balamu.
manducaverunt et adoraverunt omnes pingues terrae in conspectu eius cadent omnes qui descendunt in terram
30 Ezadde lyabwe lirimuweereza; abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
et anima mea illi vivet et semen meum serviet ipsi
31 N’abo abatannazaalibwa balibuulirwa obutuukirivu bwe nti, “Ekyo yakikoze.”
adnuntiabitur Domino generatio ventura et adnuntiabunt iustitiam eius populo qui nascetur quem fecit Dominus

< Zabbuli 22 >