< Zabbuli 21 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go. Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2 Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga, era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3 Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi, n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4 Yakusaba obulamu, era n’obumuwa, ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5 Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene. Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6 Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera, n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama, era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo, kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8 Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna; omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9 Bw’olirabika, Ayi Mukama, olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde. Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna, era alibamalirawo ddala.
10 Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi, n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 Newaakubadde nga bakusalira enkwe, ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go. Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.