< Zabbuli 20 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu. Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
2 Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu; akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
3 Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa, era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
4 Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga, era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
5 Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo, ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe. Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
6 Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo, ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
7 Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8 Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo, naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
9 Ayi Mukama, lokola kabaka, otwanukule bwe tukukoowoola.