< Zabbuli 19 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
לַמְנַצֵּחַ מִזְמוֹר לְדָוִֽד׃ הַשָּׁמַיִם מְֽסַפְּרִים כְּבֽוֹד־אֵל וּֽמַעֲשֵׂה יָדָיו מַגִּיד הָרָקִֽיעַ׃
2 Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye, era liraga amagezi ge buli kiro.
יוֹם לְיוֹם יַבִּיעַֽ אֹמֶר וְלַיְלָה לְּלַיְלָה יְחַוֶּה־דָּֽעַת׃
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa, era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
אֵֽין־אֹמֶר וְאֵין דְּבָרִים בְּלִי נִשְׁמָע קוֹלָֽם׃
4 Naye obubaka bwabyo bubunye mu nsi yonna. Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
בְּכָל־הָאָרֶץ ׀ יָצָא קַוָּם וּבִקְצֵה תֵבֵל מִלֵּיהֶם לַשֶּׁמֶשׁ שָֽׂם־אֹהֶל בָּהֶֽם׃
5 Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye, era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
וְהוּא כְּחָתָן יֹצֵא מֵחֻפָּתוֹ יָשִׂישׂ כְּגִבּוֹר לָרוּץ אֹֽרַח׃
6 Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu, ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo, era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
מִקְצֵה הַשָּׁמַיִם ׀ מֽוֹצָאוֹ וּתְקוּפָתוֹ עַל־קְצוֹתָם וְאֵין נִסְתָּר מֵֽחַמָּתוֹ׃
7 Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna, era kizzaamu amaanyi mu mwoyo. Etteeka lya Mukama lyesigika, ligeziwaza abatalina magezi.
תּוֹרַת יְהוָה תְּמִימָה מְשִׁיבַת נָפֶשׁ עֵדוּת יְהוָה נֶאֱמָנָה מַחְכִּימַת פֶּֽתִי׃
8 Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima gw’oyo akugondera. Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso, bye galaba.
פִּקּוּדֵי יְהוָה יְשָׁרִים מְשַׂמְּחֵי־לֵב מִצְוַת יְהוָה בָּרָה מְאִירַת עֵינָֽיִם׃
9 Okutya Mukama kirungi, era kya mirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya, era bya butuukirivu ddala.
יִרְאַת יְהוָה ׀ טְהוֹרָה עוֹמֶדֶת לָעַד מִֽשְׁפְּטֵי־יְהוָה אֱמֶת צָֽדְקוּ יַחְדָּֽו׃
10 Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki, okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
הַֽנֶּחֱמָדִים מִזָּהָב וּמִפַּז רָב וּמְתוּקִים מִדְּבַשׁ וְנֹפֶת צוּפִֽים׃
11 Ebyo bye birabula omuddu wo, era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
גַּֽם־עַבְדְּךָ נִזְהָר בָּהֶם בְּשָׁמְרָם עֵקֶב רָֽב׃
12 Ani asobola okulaba ebyonoono bye? Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
שְׁגִיאוֹת מִֽי־יָבִין מִֽנִּסְתָּרוֹת נַקֵּֽנִי׃
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere, bireme kunfuga. Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
גַּם מִזֵּדִים ׀ חֲשֹׂךְ עַבְדֶּךָ אַֽל־יִמְשְׁלוּ־בִי אָז אֵיתָם וְנִקֵּיתִי מִפֶּשַֽׁע רָֽב׃
14 Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange, bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.
יִֽהְיוּ לְרָצוֹן ׀ אִמְרֵי־פִי וְהֶגְיוֹן לִבִּי לְפָנֶיךָ יְהוָה צוּרִי וְגֹאֲלִֽי׃

< Zabbuli 19 >