< Zabbuli 18 >

1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo. Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
in finem puero Domini David quae locutus est Domino verba cantici huius in die qua eripuit eum Dominus de manu omnium inimicorum eius et de manu Saul et dixit diligam te Domine fortitudo mea
2 Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange, ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka; ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
Dominus firmamentum meum et refugium meum et liberator meus Deus meus adiutor meus et sperabo in eum protector meus et cornu salutis meae et susceptor meus
3 Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa, era amponya eri abalabe bange.
laudans invocabo Dominum et ab inimicis meis salvus ero
4 Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola; embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
circumdederunt me dolores mortis et torrentes iniquitatis conturbaverunt me
5 Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. (Sheol h7585)
dolores inferni circumdederunt me praeoccupaverunt me laquei mortis (Sheol h7585)
6 Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; ne nkaabirira Katonda wange annyambe. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
cum tribularer invocavi Dominum et ad Deum meum clamavi exaudivit de templo sancto suo vocem meam et clamor meus in conspectu eius introibit in aures eius
7 Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma; ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka, kubanga yali asunguwadde.
et commota est et contremuit terra et fundamenta montium conturbata sunt et commota sunt quoniam iratus est eis
8 Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze. Omuliro ne guva mu kamwa ke, ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
ascendit fumus in ira eius et ignis a facie eius exarsit carbones succensi sunt ab eo
9 Yayabuluza eggulu n’akka wansi; ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
inclinavit caelos et descendit et caligo sub pedibus eius
10 Yeebagala kerubi n’abuuka, n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
et ascendit super cherubin et volavit volavit super pinnas ventorum
11 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
et posuit tenebras latibulum suum in circuitu eius tabernaculum eius tenebrosa aqua in nubibus aeris
12 Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye, n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
prae fulgore in conspectu eius nubes eius; transierunt grando et carbones ignis
13 Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera; mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
et intonuit de caelo Dominus et Altissimus dedit vocem suam grando et carbones ignis;
14 Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe; n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
et misit sagittas et dissipavit eos et fulgora multiplicavit et conturbavit eos
15 Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula olw’okunenya kwo Ayi Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
et apparuerunt fontes aquarum et revelata sunt fundamenta orbis terrarum ab increpatione tua Domine ab inspiratione spiritus irae tuae
16 Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu, n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
misit de summo et accepit me adsumpsit me de aquis multis
17 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi, abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
eripiet me de inimicis meis fortissimis et ab his qui oderunt me quoniam confirmati sunt super me
18 Bannumba nga ndi mu buzibu, naye Mukama n’annyamba.
praevenerunt me in die adflictionis meae et factus est Dominus protector meus
19 N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya, kubanga yansanyukira nnyo.
et eduxit me in latitudinem salvum me faciet quoniam voluit me
20 Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli, ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
et retribuet mihi Dominus secundum iustitiam meam et secundum puritatem manuum mearum retribuet mihi
21 Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama, ne sikola kibi eri Katonda wange.
quia custodivi vias Domini nec impie gessi a Deo meo
22 Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde, era ne siva ku biragiro bye.
quoniam omnia iudicia eius in conspectu meo sunt et iustitias eius non reppuli a me
23 Sisobyanga mu maaso ge era nneekuuma obutayonoona.
et ero inmaculatus cum eo et observabo ab iniquitate mea
24 Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli, era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
et retribuet mihi Dominus secundum iustitiam meam et secundum puritatem manuum mearum in conspectu oculorum eius
25 Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa, n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
cum sancto sanctus eris et cum viro innocente innocens eris
26 Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu, n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
et cum electo electus eris et cum perverso perverteris
27 Owonya abawombeefu, naye abeegulumiza obakkakkanya.
quoniam tu populum humilem salvum facies et oculos superborum humiliabis
28 Okoleezezza ettaala yange; Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
quoniam tu inluminas lucernam meam Domine Deus meus inluminas tenebras meas
29 Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange; nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
quoniam in te eripiar a temptatione et in Deo meo transgrediar murum
30 Katonda byonna by’akola bigolokofu; Mukama ky’asuubiza akituukiriza; era bwe buddukiro bw’abo bonna abamwekwekamu.
Deus meus inpolluta via eius eloquia Domini igne examinata protector est omnium sperantium in eum
31 Kale, ani Katonda, wabula Mukama? Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
quoniam quis deus praeter Dominum et quis deus praeter Deum nostrum
32 Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
Deus qui praecingit me virtute et posuit inmaculatam viam meam
33 Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo, n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
qui perfecit pedes meos tamquam cervorum et super excelsa statuens me
34 Anjigiriza okulwana entalo, ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
qui doces manus meas in proelium et posuisti arcum aereum brachia mea
35 Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange; era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo; weetoowazizza n’ongulumiza.
et dedisti mihi protectionem salutis tuae et dextera tua suscepit me et disciplina tua correxit me in finem et disciplina tua ipsa me docebit
36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita, obukongovvule bwange ne butanuuka.
dilatasti gressus meos subtus me et non sunt infirmata vestigia mea
37 Nagoba abalabe bange embiro, ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
persequar inimicos meos et conprehendam illos et non convertar donec deficiant
38 Nababetenta ne batasobola na kugolokoka, ne mbalinnyako ebigere byange.
confringam illos nec poterunt stare cadent subtus pedes meos
39 Ompadde amaanyi ag’okulwana; abalabe bange ne banvuunamira.
et praecinxisti me virtute ad bellum subplantasti insurgentes in me subtus me
40 Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka, ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
et inimicos meos dedisti mihi dorsum et odientes me disperdisti
41 Baalaajana naye tewaali yabawonya; ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
clamaverunt nec erat qui salvos faceret ad Dominum nec exaudivit eos
42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula; ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.
et comminuam illos ut pulverem ante faciem venti ut lutum platearum delebo eos
43 Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu; n’onfuula omufuzi w’amawanga. Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
eripe me de contradictionibus populi constitues me in caput gentium
44 Olumpulira ne baŋŋondera, bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
populus quem non cognovi servivit mihi in auditu auris oboedivit mihi
45 Bannamawanga baggwaamu omutima ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
filii alieni mentiti sunt mihi filii alieni inveterati sunt et claudicaverunt a semitis suis
46 Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange; era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
vivit Dominus et benedictus Deus meus et exaltetur Deus salutis meae
47 Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi era akakkanya amawanga ne ngafuga. Amponyeza abalabe bange.
Deus qui dat vindictas mihi et subdidit populos sub me liberator meus de gentibus iracundis
48 Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange, n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
et ab insurgentibus in me exaltabis me a viro iniquo eripies me
49 Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
propterea confitebor tibi in nationibus Domine et psalmum dicam nomini tuo
50 Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi, amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi n’eri ezzadde lye.
magnificans salutes regis eius et faciens misericordiam christo suo David et semini eius usque in saeculum

< Zabbuli 18 >