< Zabbuli 17 >

1 Okusaba kwa Dawudi. Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira, wuliriza okukaaba kwange. Tega okutu owulirize okukoowoola kwange, kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
תְּפִלָּה לְדָוִד שִׁמְעָה יְהוָה ׀ צֶדֶק הַקְשִׁיבָה רִנָּתִי הַאֲזִינָה תְפִלָּתִי בְּלֹא שִׂפְתֵי מִרְמָֽה׃
2 Nzigyako omusango; kubanga olaba ekituufu.
מִלְּפָנֶיךָ מִשְׁפָּטִי יֵצֵא עֵינֶיךָ תֶּחֱזֶינָה מֵישָׁרִֽים׃
3 Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro. Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu; kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
בָּחַנְתָּ לִבִּי ׀ פָּקַדְתָּ לַּיְלָה צְרַפְתַּנִי בַל־תִּמְצָא זַמֹּתִי בַּל־יַעֲבָר־פִּֽי׃
4 Ggwe, gwe nkoowoola, ngoberedde ebigambo by’akamwa ko, ne neewala ebikolwa by’abantu abakambwe.
לִפְעֻלּוֹת אָדָם בִּדְבַר שְׂפָתֶיךָ אֲנִי שָׁמַרְתִּי אָרְחוֹת פָּרִֽיץ׃
5 Nnyweredde mu makubo go, era ebigere byange tebiigalekenga.
תָּמֹךְ אֲשֻׁרַי בְּמַעְגְּלוֹתֶיךָ בַּל־נָמוֹטּוּ פְעָמָֽי׃
6 Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula; ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
אֲנִֽי־קְרָאתִיךָ כִֽי־תַעֲנֵנִי אֵל הַֽט־אָזְנְךָ לִי שְׁמַע אִמְרָתִֽי׃
7 Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa, ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
הַפְלֵה חֲסָדֶיךָ מוֹשִׁיעַ חוֹסִים מִמִּתְקוֹמְמִים בִּֽימִינֶֽךָ׃
8 Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
שָׁמְרֵנִי כְּאִישׁוֹן בַּת־עָיִן בְּצֵל כְּנָפֶיךָ תַּסְתִּירֵֽנִי׃
9 Omponye ababi abannumba, n’abalabe bange abanneetoolodde.
מִפְּנֵי רְשָׁעִים זוּ שַׁדּוּנִי אֹיְבַי בְּנֶפֶשׁ יַקִּיפוּ עָלָֽי׃
10 Omutima gwabwe mukakanyavu, n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
חֶלְבָּמוֹ סָּגְרוּ פִּימוֹ דִּבְּרוּ בְגֵאֽוּת׃
11 Banzingizza era banneetoolodde; bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
אַשֻּׁרֵינוּ עַתָּה סבבוני סְבָבוּנוּ עֵינֵיהֶם יָשִׁיתוּ לִנְטוֹת בָּאָֽרֶץ׃
12 Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo era ng’empologoma enkulu eteeze.
דִּמְיֹנוֹ כְּאַרְיֵה יִכְסוֹף לִטְרוֹף וְכִכְפִיר יֹשֵׁב בְּמִסְתָּרֽ͏ִים׃
13 Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama, oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
קוּמָה יְהוָה קַדְּמָה פָנָיו הַכְרִיעֵהוּ פַּלְּטָה נַפְשִׁי מֵרָשָׁע חַרְבֶּֽךָ׃
14 Ayi Mukama, mponya abantu, abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi. Embuto zaabwe zigezze, obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe ne bazzukulu baabwe.
מִֽמְתִים יָדְךָ ׀ יְהוָה מִֽמְתִים מֵחֶלֶד חֶלְקָם בַּֽחַיִּים וצפינך וּֽצְפוּנְךָ תְּמַלֵּא בִטְנָם יִשְׂבְּעוּ בָנִים וְהִנִּיחוּ יִתְרָם לְעוֹלְלֵיהֽ͏ֶם׃
15 Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
אֲנִי בְּצֶדֶק אֶחֱזֶה פָנֶיךָ אֶשְׂבְּעָה בְהָקִיץ תְּמוּנָתֶֽךָ׃

< Zabbuli 17 >