< Zabbuli 150 >

1 Mutendereze Mukama! Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu; mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
הללו יה הללו אל בקדשו הללוהו ברקיע עזו׃
2 Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge; mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
הללוהו בגבורתיו הללוהו כרב גדלו׃
3 Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere, mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
הללוהו בתקע שופר הללוהו בנבל וכנור׃
4 Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina; mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
הללוהו בתף ומחול הללוהו במנים ועוגב׃
5 Mumutendereze nga mukuba ebitaasa; mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
הללוהו בצלצלי שמע הללוהו בצלצלי תרועה׃
6 Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.
כל הנשמה תהלל יה הללו יה׃

< Zabbuli 150 >