< Zabbuli 148 >
1 Mutendereze Mukama! Mumutendereze nga musinziira mu ggulu, mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be, mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama, nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo, naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama! Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna, n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 Mumutendereze nga musinziira ku nsi, mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu, naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 mmwe agasozi n’obusozi, emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna, ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna, abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala; abantu abakulu n’abaana abato.
13 Bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa; ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 Abantu be abawadde amaanyi, era agulumizizza abatukuvu be, be bantu be Isirayiri abakolagana naye. Mutendereze Mukama.