< Zabbuli 147 >
1 Mutendereze Mukama! Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe; kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
Lov Herren! For det er godt å lovsynge vår Gud, det er liflig, lovsang sømmer sig.
2 Mukama azimba Yerusaalemi; era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Herren bygger Jerusalem, de bortdrevne av Israel samler han.
3 Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese, era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
Han helbreder dem som har et sønderknust hjerte, og forbinder deres smertefulle sår.
4 Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye; era buli emu n’agituuma erinnya.
Han fastsetter stjernenes tall, han gir dem alle navn.
5 Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka, n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
Vår Herre er stor og rik på kraft; på hans forstand er det intet mål.
6 Mukama awanirira abawombeefu, naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
Herren holder de saktmodige oppe, bøier de ugudelige ned til jorden.
7 Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza; mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
Svar Herren med takksigelse, lovsyng vår Gud til citar,
8 Mukama abikka eggulu n’ebire, ensi agitonnyeseza enkuba, n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
ham som dekker himmelen med skyer, som lager regn for jorden, som lar gress spire frem på fjellene!
9 Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
Han gir feet dets føde, ravneungene som roper.
10 Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi, wadde mu magulu g’omuntu,
Han har ikke lyst til hestens styrke, han har ikke behag i mannens ben.
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa, era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
Herren har behag i dem som frykter ham, som venter på hans miskunnhet.
12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi, tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
Pris Herren, Jerusalem, lov din Gud, Sion!
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza, n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
For han har gjort dine portstenger faste, han har velsignet dine barn i dig.
14 Aleeta emirembe ku nsalo zo; n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
Han er den som gir dine grenser fred, metter dig med den beste hvete.
15 Aweereza ekiragiro kye ku nsi; ekigambo kye ne kibuna mangu.
Han er den som sender sin tale til jorden; såre hastig løper hans ord.
16 Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru, n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
Han er den som gir sne som ull, strør ut rim som aske.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja; bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
Han kaster sin is ut som småstykker; hvem kan stå for hans kulde?
18 Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka; n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
Han sender sitt ord og smelter dem; han lar sin vind blåse, da rinner vannene.
19 Yategeeza Yakobo ekigambo kye; Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
Han kunngjorde Jakob sitt ord, Israel sine bud og sine lover;
20 Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo; amawanga amalala tegamanyi mateeka ge. Mutendereze Mukama!
så har han ikke gjort mot noget hedningefolk, og lover kjenner de ikke. Halleluja!