< Zabbuli 146 >
1 Tendereza Mukama! Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!
2 Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange; nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3 Teweesiganga bafuzi, wadde abantu obuntu omutali buyambi.
4 Kubanga bafa ne bakka emagombe; ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
5 Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo; ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
6 eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna.
7 Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya, n’abalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe.
8 Mukama azibula amaaso ga bamuzibe, era awanirira abazitoowereddwa. Mukama ayagala abatuukirivu.
9 Mukama alabirira bannamawanga, era ayamba bamulekwa ne bannamwandu; naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.
10 Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe. Mutendereze Mukama!