< Zabbuli 145 >
1 Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza. Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange; era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 Nnaakutenderezanga buli lunaku; era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo, era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo, era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo, nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza; era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 Mukama wa kisa, ajudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 Mukama mulungi eri buli muntu, era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama; n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo, era banaatendanga amaanyi go.
12 Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi, n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa, n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa, era ayimusa bonna abagwa.
15 Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama, era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna era ayagala byonna bye yatonda.
18 Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala, era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 Mukama akuuma bonna abamwagala, naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama, era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.