< Zabbuli 144 >
1 Zabbuli ya Dawudi. Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange, atendeka emikono gyange okulwana, era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2 Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange, ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange. Ye ngabo yange mwe neekweka. Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
3 Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako, oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 Omuntu ali nga mukka. Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
5 Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke! Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6 Myansa abalabe basaasaane, era lasa obusaale bwo obazikirize.
7 Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo, omponye, onzigye mu mazzi amangi, era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8 ab’emimwa egyogera eby’obulimba, abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.
9 Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya; nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 ggwe awa bakabaka obuwanguzi; amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11 Ndokola, omponye onzigye mu mukono gwa bannamawanga bano ab’emimwa egyogera eby’obulimba, era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12 Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama, babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi, ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala ebya buli ngeri. Endiga zaffe zizaale enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14 Ente zaffe ziwalule ebizito. Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa. Waleme kubaawo kukaaba n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye! Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.