< Zabbuli 143 >
1 Zabbuli Ya Dawudi. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, wulira okwegayirira kwange! Ggwe omwesigwa era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 Tonsalira musango, kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi; anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi, n’omutima gwange gwennyise.
5 Nzijukira ennaku ez’edda, ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna, ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 Ngolola emikono gyange gy’oli, ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama, kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi. Tonkisa maaso go, nneme okufaanana ng’abafu.
8 Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo; kubanga ggwe gwe neesiga. Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu, kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange, kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 Njigiriza okukola by’oyagala, kubanga ggwe Katonda wange! Omwoyo wo omulungi ankulembere, antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
11 Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume, mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo, ozikirize n’abanjigganya bonna, kubanga nze ndi muddu wo.