< Zabbuli 142 >
1 Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku. Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka; neegayirira Mukama ansaasire.
2 Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa, ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 Omwoyo gwange bwe gunnennyika, gw’omanyi eky’okunkolera. Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera; sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama, nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6 Owulire okukaaba kwange, kubanga njeezebwa nnyo! Mponya abanjigganya, kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7 Nziggya mu kkomera, ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo. Abatuukirivu balinneetooloola, ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.