< Zabbuli 140 >

1 Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama, omponye abantu abakambwe;
למנצח מזמור לדוד חלצני יהוה מאדם רע מאיש חמסים תנצרני׃
2 abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera.
אשר חשבו רעות בלב כל יום יגורו מלחמות׃
3 Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
שננו לשונם כמו נחש חמת עכשוב תחת שפתימו סלה׃
4 Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama; omponye abantu abakambwe abateesa okunkyamya.
שמרני יהוה מידי רשע מאיש חמסים תנצרני אשר חשבו לדחות פעמי׃
5 Abantu ab’amalala banteze omutego; banjuluzza ekitimba kyabwe; ne batega emitego mu kkubo lyange.
טמנו גאים פח לי וחבלים פרשו רשת ליד מעגל מקשים שתו לי סלה׃
6 Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
אמרתי ליהוה אלי אתה האזינה יהוה קול תחנוני׃
7 Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo.
יהוה אדני עז ישועתי סכתה לראשי ביום נשק׃
8 Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga, era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira; baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
אל תתן יהוה מאויי רשע זממו אל תפק ירומו סלה׃
9 Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe zibeekyusizeeko baboneebone.
ראש מסבי עמל שפתימו יכסומו׃
10 Amanda agaaka omuliro gabagwire; basuulibwe mu muliro, bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
ימיטו עליהם גחלים באש יפלם במהמרות בל יקומו׃
11 Tokkiriza balimba kweyongera bungi; abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
איש לשון בל יכון בארץ איש חמס רע יצודנו למדחפת׃
12 Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
ידעת כי יעשה יהוה דין עני משפט אבינים׃
13 Abatuukirivu banaakutenderezanga, era w’oli we banaabeeranga.
אך צדיקים יודו לשמך ישבו ישרים את פניך׃

< Zabbuli 140 >