< Zabbuli 14 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.
2 Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ng’asinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda.
3 Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri n’omu.
4 Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga? Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere; so tebakoowoola Mukama.
5 Balitya nnyo! Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
6 Mulemesa entegeka z’omwavu, songa Mukama kye kiddukiro kye.
7 Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni! Mukama bw’alirokola abantu be, Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.