< Zabbuli 139 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, okebedde omutima gwange, n’otegeera byonna ebiri munda yange.
For the leader. Of David, a psalm. O Lord, you search and know me;
2 Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya; era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
when I sit, when I rise you know it, you perceive my thoughts from afar.
3 Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange. Omanyi amakubo gange gonna.
When I walk, when I lie you sift it, familiar with all my ways.
4 Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama, okimanya nga sinnaba na kukyogera.
There is not a word on my tongue, but see! Lord, you know it all.
5 Ondi mu maaso n’emabega, era ontaddeko omukono gwo.
Behind and before you beset me, upon me you lay your hand.
6 Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde, era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
It’s too wonderful for me to know too lofty I cannot attain it.
7 Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali? Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
Whither shall I go from your spirit? Or whither shall I flee from your face?
8 Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli; bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli. (Sheol )
If I climb up to heaven, you are there: or make Sheol my bed, you are there. (Sheol )
9 Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
If I lift up the wings of the morning and fly to the end of the sea,
10 era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
there also your hand would grasp me, and your right hand take hold of me.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire, n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
If I say, ‘Let the darkness cover me, and night be the light about me,’
12 Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza, ekiro kyakaayakana ng’emisana; kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
The dark is not dark for you, but night is as light as the day.
13 Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
For you did put me together; in my mother’s womb you did weave me.
14 Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
I give you praise for my fashioning so full of awe, so wonderful. Your works are wonderful. You knew me right well;
15 Wammanya nga ntondebwa, bwe nakolerwa mu kyama; bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
my bones were not hidden from you, when I was made in secret, and woven in the depths of the earth.
16 Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.
Your eyes saw all my days: they stood on your book every one written down, before they were fashioned, while none of them yet was mine.
17 By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda! Omuwendo gwabyo munene!
But how far, O God, beyond measure are your thoughts! How mighty their sum!
18 Singa ngezaako okubibala bisinga omusenyu obungi. Ne bwe ngolokoka mu makya oba okyandowoozaako.
Should I count, they are more than the sand. When I wake, I am still with you.
19 Abakola ebibi batte, Ayi Katonda; abasajja abassi b’abantu banveeko.
Will you slay the wicked, O God? And remove from me the bloodthirsty,
20 Abantu abo bakwogerako bibi; bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
who maliciously defy you and take your name in vain.
21 Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa; abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
Do I not hate those who hate you, Lord? Do I not loathe those who resist you?
22 Mbakyayira ddala nnyo, era mbayita balabe bange.
With perfect hatred I hate them, I count them my enemies.
23 Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange. Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
Search me, O God, know my heart: test me, and know my thoughts,
24 Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu; era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.
and see if guile be in me; and lead me in the way everlasting.